Philippians 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si kwe kugamba nti kino nkifunye, oba nti ntuukiridde. Nedda, nnyongera bwongezi kufuba nkikwate nga Kristu Yezu bwe yankwata.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sigamba nti mmaze okufuna oba nti mmaze okutuukirira, wabula nfuba okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera nfune.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si kugamba nti mmaze okukifuna oba nti mmaze okutuukirira, naye nfuba okukifuna, kubanga Kristo Yesu yanfuula owuwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sigamba nti ekyo mmaze okukifuna, oba nti mmaze okutuukirira, wabula ŋŋenda mu maaso, nga ngezaako okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera mu kunfuula owuwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Si kugamba nti mmaze okuweebwa oba nti mmaze okutuukirizibwa: naye ngoberera era ndyoke nkikwate ekyo kye yankwatira Kristo Yesu.