Philippians 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, sigamba nti mmaze okukikwata, wabula kimu kyokka kye nkola: ebyangwa enkoto mbyerabidde, nduubirira bino ebindi mu maaso;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'oluganda, ssirowooza nga mmaze okukifuna, naye ekintu kimu kye nkola, kwe kwerabira ebyo ebiri emabega, nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola, kwe kwerabira eby'emabega, ne nduubirira ebiri mu maaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'oluganda, sseerowooza nze nga mmaze okukwata: naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso,