Philippians 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffe ffenna ababalirwa mu bakuze ebirowoozo ogwo gwe mutima gwe tusaanye okuba nagwo. Oba waliwo kye mutalinaako mutima gutyo, Katonda ekyo ajja kukibabikkulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ffe ffenna abatuukiridde ekyo kye tusaana okulowoozanga, naye obanga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikkulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ffe fenna abakuze mu mwoyo, tulowoozenga ekyo: naye oba nga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikulira,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ffe abakuze mu kukkiriza, ekyo kye tuba tulowoozanga. Naye oba kye mulowooza kirala, na kino Katonda alikibalaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ffe fenna abaatuukirira, tulowoozenga ekyo: era bwe mulowooza ebirala mu kigambo kyonna, era Katonda alibabikkulira n’ekyo: