Philippians 3:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga abangi mu abo be nababuulirako emirundi emingi, era kati be mbabuulira nga nkaaba n'okukaaba, engeri gye bayisaamu ya balabe ba musaalaba gwa Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba n’amaziga, nti waliwo abalabe b’omusaalaba gwa Kristo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bangi abatambula be nnababuulirako emirundi emingi, ne kaakano mbabuulira nga nkaaba amaziga, nga be balabe ab'omusalaba gwa Kristo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo nkibabuulidde emirundi mingi, era kaakano nkiddamu nga nkaaba n'amaziga, nti waliwo bangi, mu mbeera z'obulamu bwabwe, abafuuse abalabe b'omusaalaba gwa Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bangi abatambula be nnababuulirako emirundi emingi, ne kaakano mbabuulira nga nkaaba amaziga, nga be balabe ab'omusalaba gwa Kristo: