Philippians 3:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oyo alifuula omubiri gwaffe guno ogutalina bwe guli n'agufaananya omubiri gwe ogw'ekitiibwa nga yeeyamba obuyinza obumusobozesa byonna okubissa wansi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe kuli okumuyinzisa n'okussa ebintu byonna wansi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emibiri gyaffe eminafu egifa, aligifuula ng'ogugwe ogwekitiibwa, ng'akozesa amaanyi agamusobozesa n'okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe kuli okumuyinzisa n'okussa ebintu byonna wansi we.