Philippians 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti nze natayirirwa ku lunaku olwomunaana, ndi wa mu ggwanga lya Yisirayeli, wa mu kika kya Benyamiini, ndi Mwebureeyi eyazaalibwa Abeebureeyi, mu by'amateeka nali Mufarisaayo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olw’omunaana. Ndi Muyisirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nze nnakomolerwa ku lunaku olw'omunaana, ow'omu ggwanga lya Isiraeri, ow'omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu; mu mateeka ndi Mufalisaayo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze nakomolebwa ku lunaku olw'omunaana okuva ku kuzaalibwa kwange. Eggwanga lyange, ndi Muyisirayeli, ow'omu Kika kya Benyamiini. Ndi Mwebureeyi wawu, omwana w'Abeebureeyi. Nali mu kibiina ekisinga okukwata amateeka g'Ekiyudaaya, kye ky'Abafarisaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nze eyakomolerwa ku lunaku olw'omunaana, ow'omu ggwanga lya Isiraeri, ow'omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu; mu mateeka Mufalisaayo;