Philippians 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate ng'omutakabanyi, nayigganya Ekleziya; ku bikwata ku butuukirivu obw'omu Tteeka, siriiko kinvunaanibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mu kunyiikira, nga njigganya ekkanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nnalabikanga nga ssiriiko kya kunenyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kunyiikira, nayigganya ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, era mu kukwata amateeka g'Ekiyudaaya, saaliko kye nnenyezebwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu kunyiikira, nga njigganya ekkanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nnalabikanga nga ssiriiko kya kunenyezebwa.