Philippians 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala ddala ndaba nga kwali kufiirwa olw'ekigambo eky'okumanya Kristu Yezu Mukama wange ekitenkanika. Olw'okubeera ye byonna nabifiirwa; byonna mbiyita bisasiro ndyoke neewangulire Kristu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye era n'ebintu byonna mbirowooza nga kufiirwa olw'omuwendo omungi ogusinga oguli mu kutegeera Kristo Yesu Mukama wange, ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera nga mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala ebintu byonna nabiraba ng'okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Mukama wange, kisinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng'ebisasiro olw'okufuna Kristo ng'empeera yange,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye era n'ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw'obulungi obungi obw'okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo,