Philippians 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, baganda bange abaagalwa, abannumya omwoyo, essanyu lyange, engule yange, munywerere mu Mukama, abaagalwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, ab'oluganda abaagalwa be nnumirwa omwoyo, essanyu lyange era engule yange, muyimirirenga bwe mutyo okunywerera mu Mukama waffe, abaagalwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale baganda bange be njagala ennyo, era be nnumirwa, mmwe ssanyu lyange, era mmwe ngule yange. Abaagalwa, munywererenga bwe mutyo mu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, baganda bange abaagalwa be nnumirwa omwoyo, essanyu lyange era engule yange, muyimirirenga bwe mutyo okunywerera mu Mukama waffe, abaagalwa.