Philippians 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nasanyuka nnyo mu Mukama okulaba nga muzzeemu buto okunnumirwa; mubadde ggwe wamma munnumirwa, naye nga mukyabuliddwa akadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nasanyuka nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw’ebbanga muzzeemu okundowoozaako buggya, kubanga mwali munzisaako nnyo omwoyo, naye temwalina mukisa ku kiraga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nsanyuse nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw'ebbanga muzzeemu okulowooza ku byange; naye ekyo okulowooza mwakirowoozanga, naye temwalina bbanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nfunye essanyu lingi mu Mukama, kubanga kaakano, nga wamaze okuyitawo ebbanga ddene, muzzeemu okunfaako. Kya mazima mwali munfaako, naye mwali temulina bbanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nsanyukidde nnyo Mukama waffe kubanga kaakano kye mujje musibuke okulowooza ebyange; naye ekyo okulowooza mwakirowoozanga, naye temwalina bbanga.