Philippians 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okudooba nkumanyi n'okuba n'ebingi nkumanyi; natendekebwa mu buli mbeera na mu buli kintu: okuba omukkufu n'okugenda enjala, okuba n'ebingi n'okuwamma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n'ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n'ebingi era n'okuba mu bwetaavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi okuba omwavu, era mmanyi okuba omugagga. Mu buli ngeri, ne mu mbeera zonna, nayiga okukkuta n'okulumwa enjala, okuba n'ebingi n'obutaba na kantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n'ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n'ebingi era n'okuba mu bwetaavu.