Philippians 4:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe mwennyini ab'e Filippi, mumanyi nga bwe nali nva e Masedoniya, luli nga naakatandika okuyigiriza Evangili, mpaawo Ekleziya ndala n'emu bwe twakolagana ebeeko k'empa nange mbeeko ke nfuna, wabula mmwe mwekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe, Abafiripi, mumanyi nti bwe nava e Makedoniya nga nakatandika okubuulira Enjiri, tewali Kkanisa n’emu eyampaayo akantu olw’ebyo bye yafuna okuggyako mmwe mwekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mmwe, Abafiripi, mumanyi nga bwe nnava e Makedoni nga nnakatandika okubuulira Enjiri, tewali kkanisa eyassa ekimu nange mu kigambo eky'okugaba n'okuweebwa, wabula mmwe mwekka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mmwe ab'e Filippi mumanyi nti bwe natandika okutegeeza abantu Amawulire Amalungi nga nva e Makedooniya, tewaali kibiina ky'abakkiriza Kristo na kimu ekyampaayo akantu olw'ebyo bye kyafuna, okuggyako mmwe mwekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mmwe, Abafiripi, mumanyi nga mu kusooka kw'enjiri, bwe nnava mu Makedoni, nga siwali kkanisa eyassa ekimu nange mu kigambo eky'okugaba n'okuweebwa, wabula mmwe mwekka;