Philippians 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eky'okumpa si kye nnoonya; wabula nnoonya magoba ageeyongera ku bugagga bwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Soogera kino lwa kubanga njagala okufuna ekirabo, wabula kye njagala kwe kulaba ng’ekibala kyeyongera ku lwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ssoogera kino kubanga njagala kufuna kirabo, naye nnoonya ekibala ekyeyongera ku muwendo gwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekirabo si kye njagala, naye kye njagala kwe kulaba nti bye mufuna byeyongera obungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Si kubanga nnoonya kirabo; naye nnoonya bibala ebyeyongera ku muwendo gwammwe.