Philippians 4:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Leero nnina byonna, biyitiridde n'okuyitirira; nzijudde oluvannyuma lw'okufuna okuva ku Epafurodito ebintu bye mwampeereza; byali akawoowo ak'akaloosa, ekitambiro ekisanyusa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, kino kisinzidde mu ebyo bye mwampeereza, Epafuladito bye yandeetera. Biri ng’akaloosa akalungi ennyo aka ssaddaaka esanyusa era esiimibwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, olw'ebyo Epafulodito byeyaleeta ebyava gye muli, biringa evvumbe eriwunya obulungi, ssaddaaka ekkirizibwa, esiimibwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano mmaze okufuna ebisinga ku ebyo bye neetaaga. Nzijudde olw'okufuna bye mwampeereza, Epafuradito bye yandeetera. Ebirabo bino biri ng'akawoowo akalungi ennyo ak'ekitambiro ekisanyusa, era ekisiimibwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nnina ebintu byonna, ne nsukkirira: nzikuse, bwe nnamala okuweebwa Epafulodito ebyava gye muli, evvumbe eriwunya obulungi, ssaddaaka ekkirizibwa, esiimibwa Katonda.