Philippians 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsaba naawe munnange omwesigwa bwe tukola omulimu, abakyala abo obayambe, kubanga twakolanga ffenna ku lw'Evangili wamu ne Kulementi ne bakozi bannaffe abalala amannya gaabwe agaawandiikibwa edda mu kitabo ky'obulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate era naawe, muddu munnange ddala ddala, nkwegayiridde yamba abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw'enjiri nga tuli ne Kulementi, ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gali mu kitabo ky'obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nsaba ggwe mukozi munnange omwesigwa, oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw'okubunyisa Amawulire Amalungi. Abo awamu ne Kelementi, era n'abakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky'obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate era naawe, muddu munnange ddala ddala, nkwegayiridde obeerenga abakazi abo, kubanga baakolanga emirimu wamu nange mu njiri, era ne Kulementi, n’abalala bakozi bannange, amannya gaabwe gali mu kitabo ky'obulamu.