Philippians 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temubaako kye mweraliikirira n'akatono, naye mu buli kintu bye mwetaaga mubyanjulirenga Katonda nga mwegayirira awamu n'okwebaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna nga musaba n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga, bye mwagala bitegeezebwenga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temweraliikiriranga kintu na kimu, naye byonna mubitegeezenga Katonda, nga mumusaba, nga mumwegayirira era nga mumwebaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda.