Philippians 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo eddembe lya Katonda erisukkiridde buli kutegeera, linaakuumanga emitima gyammwe n'emyoyo gyammwe mu Kristu Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaakuumanga emitima gyammwe n'amagezi gammwe mu Kristo Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirembe gya Katonda egisukkiridde okutegeera kwaffe, ginaakuumanga emitima gyammwe n'emyoyo gyammwe, nga biri wamu ne Yesu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.