Philippians 4:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisembayo, abooluganda, buli kya mazima, buli kya kitiibwa, buli kituufu, buli kitukuvu, buli kyegombebwa, buli kyogerwako obulungi, oba waliyo empisa ennungi, oba ekiweesa ettendo, ebyo bye muba mulowoozaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eky'enkomerero, ab'oluganda, oba nga waliwo eby'amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby'obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda eky'enkomerero, ebyo byonna eby'amazima, ebissibwamu ekitiibwa, ebituufu, ebirongoofu, ebyagalibwa, n'eby'ettendo, bye muba mulowoozangako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebisigaddeyo, ab'oluganda, eby'amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby'obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.