Proverbs 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
tubamire ng'amagombe nga balamu, nga balamba ng'abo abakkirira mu bunnya;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu, era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tubafuukire amagombe, tubamire nga bakyali balamu, Basaanewo nga bakyali balamba ng'abo abakka mu bunnya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
tubafuukire amagombe tubamire, basaanewo ng'abakka mu bunnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tubamire nga bakyali balamu ng'amagombe, Era nga bakyali balamba ng'abo abakka mu bunnya;