Proverbs 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo bennyini omusaayi gwabwe gwe baba beekwekeredde, obulamu bwabwe bwe baba baliimisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye abantu ng’abo baba beetega bokka, baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu ng'abo, bateega bulamu bwabwe bo, Bafiira mu mitego gyabwe bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abantu ng'abo, bateega bulamu bwabwe bwennyini, era be bafiira mu nkwe zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abo bateega omusaayi gwabwe bo, Bagwira mu kyama obulamu bwabwe bo.