Proverbs 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe gatyo amakubo g'omulyazaamaanyi bwe gaba, obulyazaamaanyi buzikiriza nnyinibwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu. Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo bwe babeera abafuna ebintu nga banyaga: Baba besse bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe kityo bwe kiba ku buli afuna eby'obunyazi: ababifuna, biribatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe gatyo bwe gabeera amakubo aga buli muntu eyeegomba amagoba; Gaggyawo obulamu bwa bannyini go.