Proverbs 1:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
galeekaanira mu masaŋŋanzira, mu mizigo gy'emiryango gy'ekibuga googera nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira, era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky'okukuŋŋaaniramu; Awayingirirwa mu kibuga, Wegoogerera ebigambo byago:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Googera n'eddoboozi ery'omwanguka awayingirirwa mu kibuga, n'abangi we bakuŋŋaanira. Ne gagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky'okukuŋŋaaniramu; Awayingirirwa mu miryango, Mu kibuga mwe galeetera ebigambo byago: