Proverbs 1:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ababuyabuya munaatuusa wa okwagala obubuyabuya? Abasekerera, munaatuusa wa okusanyukira okusekerera, n'abasiru okukyawa amagezi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi, nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi? N'abanyooma okusanyukiranga okunyooma, N'abasirusiru okukyawanga okumanya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagala obutamanya? Nammwe abanyoomi mulituusa wa okusanyukira obunyoomi? Era nammwe abasiru mulituusa wa okukyawa okumanya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi? N'abanyooma okusanyukiranga okunyooma, N'abasirusiru okukyawanga okumanya?