Proverbs 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okufuna okugunjulwa, okumanya, obutuukirivu, obutuufu n'obuluŋŋamu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi, okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ziyigiriza amagezi ag'okukolanga eby'amagezi, Eby'obutuukirivu, eby'amazima ne by'obwenkanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ziyigiriza amagezi ag'okukola ebituufu, n'okusala ensonga mu bwenkanya, n'okuba abeesimbu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukkiriza okuyigirizibwanga okukolanga eby'amagezi, Obutuukirivu n'okusalanga emisango n'okugobereranga ensonga;