Proverbs 10:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugagga bw'omugagga kye kigo kye, naye obwavu bw'abanaku kwe kuzikirira kwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo, naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu eby'omugagga kye kibuga kye eky'amaanyi: Abaavu okuzikirira kwabwe bwavu bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugagga, by'alina bimukuuma; naye obwavu, buzikiriza oyo abulina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebintu eby'omugagga kye kibuga kye eky'amaanyi: Abaavu okuzikirira kwabwe bwavu bwabwe.