Proverbs 10:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awulira ebimuyigirizibwa aba akutte kkubo lya bulamu, naye atafa ku bye bamunenyaamu, awaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu, naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo ali mu kkubo ery'obulamu assaayo omwoyo eri okubuulirirwa: Naye oyo aleka okunenyezebwa awaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo akkiriza okubuulirirwa, akuuma obulamu bwe; naye oyo agaana okunenyezebwa, talema kuwaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo ali mu kkubo ery'obulamu assaayo omwoyo eri okubuulirirwa: Naye oyo aleka okunenyezebwa akyama.