Proverbs 10:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emimwa gy'omutuukirivu giriisa bangi, naye abasiru bafa lwa bwavu bwa mutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi, naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo by'omutuukirivu bigasa bangi: Naye abasirusiru bafa olw'okubulwa okutegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo by'omuntu omulungi, bigasa bangi; naye abasiru bafa, olw'okubulwa okutegeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emimwa gy'omutuukirivu giriisa bangi: Naye abasirusiru bafa olw'okubulwa okutegeera.