Proverbs 10:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusiru asanyukira mu kukola bubi, naye omutegeevu essanyu limuli mu magezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusirusiru asanyukira okukola ebibi, naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okukola obubi muzannyo gwa musirusiru: Naye okukola eby'amagezi, kye kisanyusa omuntu alina okutegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukola ebibi, gwe muzannyo gw'abasiru; naye okukola eby'amagezi, kye kisanyusa abategeevu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okukola obubi muzannyo gwa musirusiru: Era bwe gatyo amagezi bwe gabeera eri omuntu alina okutegeera.