Proverbs 10:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuyaga oluyita guti, ababi nga tebakyaliwo, naye abatuukirivu olubeerera banywevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa, naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kibuyaga bw'akunta, omubi nga takyaliwo, Naye omutuukirivu alinywezebwa emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kibuyaga bw'akunta, ababi bamenyebwawo; naye abalungi, musingi mugumu ogw'olubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empewo ez'akazimu bwe ziyita, kale omubi nga takyaliwo: Naye omutuukirivu musingi gwa lubeerera.