Proverbs 10:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'enkaatu ku mannyo, n'omukka ku maaso, n'omugayaavu bw'ali ku bamutumye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso, n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'omwenge omukaatuufu bwe gunyenyeeza amannyo, era ng'omukka bwe gubalagala amaaso, N'omugayaavu bw'alumya bw'atyo abo abamutuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'otuma omugayaavu, akulumya ng'omwenge omukaatuufu bwe gunyenyeeza amannyo, era ng'omukka, bwe gubalagala mu maaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'omwenge omukaatuufu bwe gugira amannyo, era ng'omukka bwe gugira amaaso, N'omugayaavu bw'agira bw'atyo abo abamutuma.