Proverbs 10:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emimwa gy'omutuukirivu gimanyi ekisanyusa, naye akamwa k'ababi kabuulire bubambaavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde; naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abatuukirivu boogera ebisaana, Naye ababi boogera bya bubambaavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abalungi bamanya ebisaanye okwogerwa; naye ababi, boogera ebitabula abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emimwa gy'omutuukirivu gigaanyi ebikkirizibwa: Naye omumwa gw'ababi gwogera bubambaavu.