Proverbs 10:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akuŋŋaanya mu kyeya, mwana mugezi, naye eyeebaka obwebasi mu kusambula, akuba ensonyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu, naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akungulira mu kyeya mwana wa magezi: Naye oyo eyeebakira mu biro eby'okukunguliramu ye mwana akwasa ensonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu ow'amagezi akungula mu budde obw'ekyeya; naye eyeebaka mu bw'amakungula, akwasa abantu ensonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akungulira mu kyeya mwana wa magezi: Naye oyo eyeebakira mu biro eby'okukunguliramu ye mwana akwasa ensonyi.