Proverbs 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwesimbu mu mpisa atambula mirembe, naye oyo ow'amakubo amakyamu talirwa kumanyika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe, naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu atambulira mu bugolokofu, aba n'emirembe, Naye omukumpanya, alimanyibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu akolera ku mazima, aba bulungi, era aba mirembe; naye omukumpanya, alimanyibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Atambulira mu bugolokofu ye atambula emirembe: Naye akyamya amakubo ge alimanyibwa.