Proverbs 11:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatuukirivu bwe bibagendera obulungi, ekibuga kyesunako; ababi bwe bazikirira, ziba nduulu za ssanyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abatuukirivu bwe bakulaakulana ekibuga kijaguza; abakozi b’ebibi bwe bazikirira wawulirwawo amaloboozi ag’essanyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abatuukirivu bwe bafuna ebirungi, ekibuga kisanyuka: Era ababi bwe bafa, wabaawo okuleekaana olw'essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abeesigwa bwe bafuna ebirungi, ekibuga kisanyuka. Era omubi bw'afa, wabaawo okuleekaana olw'essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abatuukirivu bwe balaba ebirungi, ekibuga kisanyuka: Era ababi bwe babula, wabaawo okuleekaana.