Proverbs 11:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayeeyimirira omugwira kalimujjuutuka, kyokka akyawa obukalu aliba bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyeeyimirira omuntu gw’atamanyiko alibonaabona, naye oyo akyawa okweyimirira aliba bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi talirema kwejjusa, Naye akyawa okweyimirira, anaaba n'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyeeyimirira gw'atamanyi, talirema kwejjusa, akyawa okweyingiza mu by'abalala, ye aliba emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi alibalagalwa: Naye akyawa obuyima anaabanga wa nkalakkalira.