Proverbs 11:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubi amagoba g'afuna mpaamu kantu, naye asiga obutuukirivu empeera tagisubwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukozi w’ebibi afuna empeera ey’obukuusa, naye oyo asiga eby’obutuukirivu akungula empeera eya nnama ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubi afuna empeera emulimbalimba: Naye oyo asiga obutuukirivu aba n'empeera ey'enkalakkalira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akola ebibi yeerimba nti alibiggyamu omugaso. Akola ebirungi, ye aweebwa empeera yennyini emugasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omubi afuna empeera emulimbalimba: Naye oyo asiga obutuukirivu aba n'empeera ey'enkalakkalira.