Proverbs 11:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu agaba nga bw'ayagala, naye ne yeeyongera bugagga; omulala aganiriza, naye n'ayongera kwavuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala; naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo abasaasaanya, naye ate nga beeyongera kugaggawala; Era waliwo akodowala okusinga bwe kigwana, naye neeyongera kwavuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo abasaasaanya ensimbi, ne beeyongera kugaggawala; era waliwo abazikodowalira okusinga bwe kisaanidde, naye ne beeyongera kwavuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wabaawo asaasaanya ne yeeyongera nate okwala; Era wabaawo akodowala okusinga bwe kigwana, naye kireeta kwetaaga bwetaazi.