Proverbs 11:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anoonya ekirungi obutaddirira aba anoonya kuganja; naye agoberera obwonoonefu, ebibi birimujjira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo anyiikira okukola obulungi afuna okuganja, naye oyo anoonya ekibi, kimujjira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anyiikira okunoonyanga ebirungi, anafuna okuganja; Naye oyo anoonya okukola ekibi, kyanafunanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'oba nga ky'ogoba kirungi, olisiimibwa abalala; naye ky'ogoba bwe kiba nga kibi, era kibi ky'olifuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Anyiikira okunoonyanga ebirungi, anoonyanga n'okuganja: Naye akenneenya ettima, linaamujjiranga.