Proverbs 11:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli atabangula amaka ge, alisikira mpewo; omusiru alifuuka muweereza wa mugezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo; era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Atawanya ab'omu maka ge, alisikira bbanga; N'omusiru anaafugibwanga oyo ow'amagezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atawaanya ab'omu maka ge, alisikira bbanga; era omusiru, anaafugibwanga oyo ow'amagezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ateganya ennyumba ye ye alisikira empewo: N'omusirisuru aliba muddu w'oyo alina omutima ogw'amagezi.