Proverbs 11:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba omutuukirivu asasulibwa ku nsi, leero alabisa omubi n'omwonoonyi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga omutuukirivu alifuna ekimusaanidde ku nsi kuno, oyo atatya Katonda n’omwonoonyi balirema obutafuna ekibasaanidde?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi: N'omubi n'omwonoonyi nabo balifuna ekibasaanira!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba nga abantu abalungi mu nsi baweebwa empeera ebasaanira, kale omubi n'omwonoonyi balirema batya okufuna ekibasaanira!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi: Omubi n'omwonoonyi tebalisinga nnyo?