Proverbs 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kadde ak'obusungu obugagga tebulina kye bugasa; naye obutuukirivu buwonya okufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obugagga tebugasa ku lunaku olw’okusalirwako omusango, naye obutuukirivu buwonya okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obugagga tebugasa, Katonda nga asunguwadde. Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda bw'asunguwala, obugagga tebukuyamba; naye okuba omwesimbu, kutaasa obulamu bwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obugagga tebuliiko kye bugasa ku lunaku olw'obusungu: Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.