Proverbs 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obutuukirivu bw'abataliiko musango bulambika ekkubo lyabwe; naye ababi obugwenyufu bwabwe bwe bubasuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obutuukirivu bw’abalongoofu bubatambuliza mu kkubo eggolokofu naye abakozi b’ebibi bagwa olw’ebikolwa byabwe ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye: Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwesimbu bw'omuntu omulungi, buluŋŋamya obulamu bwe; naye omuntu omubi, yeezikiriza yekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye: Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye.