Proverbs 12:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusiru alagirawo obusungu, naye omugezi ekivumo akinyooma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe, naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okweraliikirira kw'omusirusiru kumanyibwa mangu ago: Naye omuntu omutegeevu asirikira okuvumibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusiru olusunguwala, buli muntu n'akimanya; naye ow'amagezi, asirika ne bw'avumibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okweraliikirira kw'omusirusiru kumanyibwa mangu ago: Naye omuntu omutegeevu akisa ensonyi.