Proverbs 12:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayogera ky'amanyi ajulira mu mazima, naye omujulirwa omulimba afukumula bya bulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu, naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayogera amazima, ayolesa obutuukirivu, Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayogera amazima, ayolesa obwenkanya; naye obujulizi obw'obulimba, buleeta okusaliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayatula eby'amazima ayolesa obutuukirivu, Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa.