Proverbs 12:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigambo ebimale googerwa bifumita ng'ekitala, naye olulimi lw'abagezi luleeta bulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi, naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabaawo ayogera ng'ayanguyiriza, ebigambo bye ne biba ng'ekitala okufumita. Naye ebigambo by'ab'amagezi, biwonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayogera nga talowoozezza, ebigambo bye biba kitala ekifumita abalala; naye ebigambo by'ab'amagezi, biwonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wabaawo ayogera ng'ayanguyiriza ng'okufumita okw'ekitala: Naye olulimi lw'ab'amagezi kwe kulaama.