Proverbs 12:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mitima gy'abategeka akabi mubaamu nkwe, naye mu gy'abaleeta emirembe, ssanyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi, naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obulimba buli mu mitima gy'abo abateesa okukola obubi: Naye abateesa emirembe baba n'essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abateesa okukola ebibi, abo beerimba; naye essanyu liba ly'abo, abateesa eby'emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okudyeka kuli mu mitima gy'abo abateesa obubi: Naye abateesa emirembe baba n'essanyu.