Proverbs 12:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emimwa egirimba Omukama agyenyinyala, naye abakola amazima lye ssanyu lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama akyawa emimwa egirimba, naye asanyukira ab’amazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama akyayira ddala aboogera eby'obulimba; Naye abo abakola eby'amazima basanyukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama akyayira ddala aboogera eby'obulimba; kyokka asanyukira abakolera ku mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emimwa egirimba gya muzizo eri Mukama: Naye abo abakola eby'amazima b'asanyukira.