Proverbs 12:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu omutegeevu akisa amagezi ge; naye omutima gw'abasiru gufubutula busiru.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi, naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omutegeevu akisa bya manyi; Naye omusiru, alangirira obutamanya bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omutegeevu, talaalaasa buli ky'amanyi; naye omusiru, alangirira obutamanya bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu omutegeevu akisa okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru gulaalika obusirusiru.