Proverbs 12:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono gw'abanyiikivu gulifuga, naye abagayaavu balissibwa ku kasanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi, naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okunyiikira okukola, kukufuula wa buyinza; Naye omugayaavu akozesebwa omulimu ogw'obuddu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okunyiikirira okukola, kukufuula wa buyinza; naye obugayaavu, bukufuula muddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukono gw'abanyiikivu gulifuga: Naye omugayaavu balimukoza omulimu ogw'obuddu.