Proverbs 12:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugayaavu agayaalirira omuyiggo gwe, naye obugagga amatendo bulibeera bwa munyiikivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe, naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omugayaavu tasobola wadde kufumba ky'ayizze; Naye omunyiikivu, afuna eby'obugagga bingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugayaavu alemwa okufumba ky'ayizze; naye omunyiikivu, afuna ebyobugagga bingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu omugayaavu tayokya ekyo ky'akutte ng'ayigga; Naye ebintu eby'omuwendo omungi eby'abantu biba bya munyiikivu.